Isaiah 7:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo buli awaabanga emizabbibu olukumi egiweramu sekeli lukumi, walibaawo nkandwa na maggwa byokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku lunaku olwo, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi (1,000), buli gumu nga gwa sekeri lukumi (1,000), kiriba kisigaddemu myeramannyo n'amaggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu nga gwa sekeli lukumi, kirizika, nga kimezeemu emyeramannyo n'amaggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n'amaggwa.