Isaiah 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu baligendangayo na busaale na mitego kubanga ensi eriba emezezza wonna enkandwa n'amaggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusale, kubanga ensi yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusaale, kubanga ensi eyo yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balijjayo nga balina obusaale n'omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n'amaggwa.