Isaiah 7:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ensozi ezaali zirimiddwa n'enkumbi temuligendayo olw'okutya enkandwa n'amaggwa; birifuuka bifo ente gye ziteerwa n'endiga gye zirinnyirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise ng'omuntu tasobola kutuukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise emyeramannyo n'amaggwa, ng'omuntu tasobola kugendayo. Waliba wa kusindikayo nte na kulinnyirirwa ndiga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensozi zonna ze baalimanga n'enkumbi, tolituukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.