Isaiah 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda, ggwe ne mutabani wo Seyari-Yasubu, osisinkane Akazi ku lusalosalo oluleeta amazzi mu Kidiba ky'Emambuka gye lukoma, mu kkubo eriraga ku Nnimiro y'Omwozi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano ogende ne mutabani wo Seyalusayubu, osisinkane Akazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba eky'engulu we gukoma, ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi w'engoye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda ne mutabani wo Seyariyasubu, osisinkane Ahazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba ky'amazzi eky'engulu we gukoma, mu luguudo olugenda ku kibanja ky'omwozi w'engoye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw'ekidiba eky'engulu we lukoma, mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye;