Isaiah 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omugambe nti: ‘Laba eno! Kkakkana, leka kutya; omutima gwo guleke kutengera olw'obukuggu buno obubiri obw'enku obunyooka, yadde olw'okwesera kw'obusungu bwa Rezini n'obwa mutabani wa Remaliya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugambe nti, “Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu n'obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obwa mutabani wa Lemaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugambe nti: ‘Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu obukambwe obwa Rezini n'Abassiriya, n'obwa Peka mutabani wa Remaaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; totya, so n'omutima gwo teguzirikanga olw'emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw'obusungu obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obw'omwana wa Lemaliya.