Isaiah 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omutwe gwa Aramu ye Damasiko, ate omutwe gwa Damasiko ye Rezini. Ka wayite emyaka nkaaga mu etaano, Efurayimu aliba asesegguddwa nga takyali ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko. Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Lezini afuga Busuli yekka n'ekibuga kyayo ekikulu Ddamasiko, Naye mu bbanga lya myaka enkaaga mu etaano (65), Efulayimu alibetentebwatentebwa nga takyayinza kuba ggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Rezini afuga Siriya yokka n'ekibuga kyayo ekikulu Damasiko. Ate mu myaka nkaaga mu etaano, Yisirayeli eriba yeekutuddekutuddemu, nga terikyali ggwanga limu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omutwe gw'Obusuuli ye Ddamasiko n'omutwe gw'e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n'etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga: