Isaiah 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutwe gwa Efurayimu ye Samariya, omutwe gwa Samariya ye mutabani wa Remaliya. Bwe mutaasigale nga muli bagumu, temugenda kunywera n'olumu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu, era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya. Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira n’akatono.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga ekikulu ekya Efulayimu ye Samaliya, ne kabaka wa Isiraeri ye Peka mutabani wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekikulu ekya Yisirayeli ye Samariya, ne kabaka wa Yisirayeli ye Peka mutabani wa Remaaliya. “Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n'omutwe gw'e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.