Isaiah 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yaŋŋamba bw'ati ng'antaddeko omukono gwe ogw'amaanyi, n'ampabula nneme kugoberera kkubo ly'abantu bano. Yagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yayogera nange bw'atyo mu buyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yayogera nange n'obuyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme kugoberera mpisa za bantu bano. Yagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yayogera nange bw'atyo n'omukono ogw'amaanyi, n'anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly'abantu bano, ng'ayogera nti