Isaiah 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula Omukama w'Amagye, oyo gwe mutwalanga ng'omutuukirivu, oyo gwe mubanga mutya, oyo y'abanga abeesisiwaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama ow'eggye, oyo gwe muba mutwala nga omutukuvu, oyo gwe muba mutya, era oyo gwe muba mukankanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye nga Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi mutuukirivu. Nze mubanga mutya, era munzisengamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ow'eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe.