Isaiah 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alifuuka kitukuvu; naye ku lw'ennyumba zombi eza Yisirayeli aliba olwazi olubeesittaza ne bagwa; ate ku batuuze b'omu Yeruzaalemu alibeera kitimba na mutego.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alibafuukira ekifo ekitukuvu mwe muliwonera, naye eri ennyumba zombi eza Isiraeri, aliba ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi kwe balyekoona ne bagwa, era nelibafuukira omutego n'ekyambika abo bonna abatuula mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze kifo ekitukuvu mwe muliwonera. Naye ab'omu bwakabaka bwombi: obwa Yisirayeli n'obwa Buyudaaya, era n'abatuuze b'omu Yerusaalemu nga bwe batakkirizza Nze kubalabirira, ndibafuukira ejjinja kwe beesittala, n'olwazi kwe beekoona ne bagwa, era ndibafuukira omutego n'ekyambika ebibakwasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliba ng'awatukuvu; naye aliba ng'ejjinja ery'okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza Isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi.