Isaiah 8:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzuuno n'abaana bange Katonda be yampa; tuli bubonero na byewuunyo mu Yisirayeli ebiva eri Katonda w'Amagye, asula ku lusozi Siyoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde tuli bubonero na byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuutuno, nze n'abaana bange Mukama be yampa. Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe ye ku Lusozi Siyooni, yatuteekawo tube obubonero n'ebyamagero mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nze n'abaana Mukama b'ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow'eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.