Isaiah 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bwe bakugambanga nti: “Weebuuze ku ndagu ne ku balanzi aboogera obwama n'okumuumuunya,” ggwe wamma abantu tebasaanye okwebuuza ku lubaale waabwe? Naye lwaki ensonga z'abalamu zeebuuzibwa ku bafu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bwe babagambanga nti, Mubuuze abo abaliko emizimu n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinnyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu babibuuza bafu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe babagambanga nti: “Mwebuuze ku basamize n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinyonyi era aboogera obwama,” temumanyi ng'abantu basaana kwebuuza ku Katonda waabwe? Ebifa ku bulamu ate byebuuzibwa ku bafu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?