Isaiah 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku tteeka ne ku bujulizi! Bye boogera bwe biba tebyesigamiziddwa ku bino, tebaliraba ku kitangaala kya mmambya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amateeka n'obujulirwa! oba nga tebyogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubaddangamu nti: “Tunywerere ku Mateeka n'ebyokulabirako Katonda bye yatuwa.” Abo aboogera ne batajuliza ebyo nga bwe biri, mazima balifiira mu kizikiza nga tebunnakya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tudde eri amateeka n'obujulirwa! oba nga teboogera ng'ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.