Isaiah 8:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balibungeetera mu nsi, nga bayala, nga badooba; enjala ng'ebalumye, baliswakiira, baliralamya emitwe gyabwe ne bavuma kabaka waabwe ne Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, nga batunudde waggulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era banaabungeeteranga mu nsi nga beeraliikirira nnyo, era nga balumwa enjala. Nga bali mu kulumwa enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Wadde balitunula waggulu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu: