Isaiah 8:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe baligikoteka ku ttaka, baliraba buyinike na nzikiza byokka, era ne kazigizigi ow'entiisa; balikanyugibwa mu nzikiza ekutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe balitunuula wansi ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba ne batunula wansi ku ttaka, naye tebalibaako kirala kye balaba wabula ennaku n'ekizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n'ekizikiza, ekizikiza eky'okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.