Isaiah 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋenda eri omukazi omulanzi, n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi. Omukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Maweri-Salali-Kasi-Bazi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne neegatta, nnabbi omukazi, n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti, “Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasubazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne neegatta ne mukyala wange, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Kunyagamubwangukutwalamangu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n'aba lubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi.