Isaiah 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga omwana aliba tannayiga kukowoola nti: ‘Taata’ oba ‘Maama’, obugagga bwa Damasiko n'omunyago gwa Samariya biriba bitwaliddwa kabaka wa Assuri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omwana oyo aliba nga tannamanya kuyita nti, Taata oba nti, Maama, obugagga obw'e Ddamasiko, n'ebyo byonna Samaliya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka w'e Bwasuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga omwana oyo aliba tannamanya kuyita nti ‘Taata’ oba nti ‘Maama’, obugagga bw'e Damasiko, n'ebyo byonna Samariya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka wa Assiriya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw'e Ddamasiko n'omunyago ogw'e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.