Isaiah 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kubasindikira amazzi g'Omugga ag'amaanyi, ag'ettumbiizi, ye kabaka wa Assuri n'ekitiibwa kye kyonna; galyalaala wonna mu myala gyagwo, gabooge ne ku mbalama zaagwo zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno Mukama anaatera okubaleetako amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu, ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna; galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale nno, Nze Mukama nja kuleeta ku bo amazzi amangi ag'amaanyi ag'Omugga, Fulaati, ye kabaka w'e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: amazzi ago galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale Nze Afugabyonna nja kuleeta ku bo amazzi amangi era ag'amaanyi ag'Omugga Ewufuraate, ye kabaka wa Assiriya n'ekitiibwa kye kyonna. Amazzi ago galijja ne gajjuza emikutu gya Buyudaaya gyonna, ne gaalaala ku mbalama zaayo zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag'Omugga, ag'amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n'ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyona: