Isaiah 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleekaane, mmwe abantu, naye mutekemuke. Muwulire, mmwe ensi ez'ewala; mwesibe, naye mutekemuke. Mwesibe, naye mutekemuke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire. Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala; mwenyweze naye mwekaabire; mwenyweze naye mwekaabire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyoogaane, mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwekuŋŋaanye mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka.