Isaiah 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ababadde batambulira mu kizikiza, balabye ekitangaala ekinene; abo ababadde mu nsi ey'ekisiikirize eky'olumbe, ekitangaala kibaakidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye mu kiseera eky'oluvannyuma ndizifuula za kitiibwa, okuva ku nnyanja, emitala wa Yoludaani, okutuuka ku Ggaliraaya ey'abamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekizikiza tekiribeerera eyo awali okubonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye gye bujja ekitundu ekyo kiriba kyakitiibwa, okuva ku Nnyanja Eyaawakati, okudda ebuvanjuba emitala wa Yorudaani, n'okutuuka e Galilaaya ey'ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky'oluvannyuma agifudde ya kitiibwa, awali ekkubo ery'ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'amawanga.