Isaiah 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaaramu okuva ebuvanjuba n'Abafilisitiini ebugwanjuba, bakavvudde Abayisirayeli nga baasamizza akamwa. Olw'ebyo byonna obusungu bwe tebunnaggwa, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; alibakumaakuma bamulumbe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyaliva akunga abalabe ba Lezini, nabawaga okumulumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyaliva akunga abalabe ba Rezini, n'abakubiriza okulumba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era alisaakiriza abalabe be;