Isaiah 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye era abantu tebakomyewo eri oyo abakubye, yadde okunoonya Omukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba, balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasuuli okuva ebuvanjuba n'Abafirisuuti okuva ebugwanjuba balyasamya akamwa kaabwe okumira Isiraeri. Wadde nga ebyo byonna bimaze okubaawo, obusungu bwa Mukama buliba bukyaliwo, era aliba akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasiriya ebuvanjuba, n'Abafilistiya ebugwanjuba, balyasamya akamwa kaabwe okumira Yisirayeli. Ebyo nga bimaze okuba bwe bityo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde. Aliba akyagolodde omukono gwe okubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasuuli mu maaso, n'Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n'akamwa akayasamye. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.