Isaiah 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ky'avudde atemako Yisirayeli omutwe n'omukira; byombi, ettabi ly'olukindu n'olumuli ku lunaku lumu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye aba Isiraeri tebeenenya newaankubadde nga Mukama ow'eggye yabakuba, era tebaakyuka kumunoonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli tebeenenya newaakubadde nga Mukama Nnannyinimagye yababonereza, era tebaakyuka kudda gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaanoonyanga Mukama wa ggye.