Isaiah 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Omukama kyaliva tasanyukira mu bavubuka baabwe, era tagenda kusaasira bamulekwa na bannamwandu baabwe, kubanga abantu bonna temuli ddiini, babi, era na buli kamwa koogera bya busiru. Olw'ebyo byonna obusungu bwe tebunnaggwa, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya, n'abo abakulemberwa babuzaabuzibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abakulembera abantu bano babakyamya, abo abakulemberwa ne babuzibwabuzibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n'abo be bakulembera bazikirizibwa.