Isaiah 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwo obwonenefu bubuubuuka nga muliro, bwokya enkandwa n'amaggwa, bukoleeza obusaka bw'omu kibira, bwambuka mu bbanga nga bweranga ng'omukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako, era omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Mukama tasanyukira bavubuka baabwe, era tasaasira abali mu bo abatalina bakitaabwe, wadde bannamwandu baabwe, kubanga buli muntu tamanyi Katonda era mukozi wa bibi era buli mumwa gwogera byabusirisiru. Olw'ebyo byonna obusungu bwa Mukama tebunnavaawo, era akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama talireka na bavubuka baabwe kubaako buwonero, era talisaasira bannamwandu baabwe, wadde abaana abafiiriddwako bakitaabwe, kubanga abantu bonna bavvoola era bakola ebibi, era bonna boogera eby'obusiru. Ebyo nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyaliva alema okusanyukira abavubuka baabwe, so talisaasira baana baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baabwe: kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby'obusiru. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako naye omukono gwe gukyagoloddwa.