Isaiah 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ekoledde omuliro olw'obusungu bw'Omukama w'Amagye; abantu bafuuse enku eziriikiriza omuliro; omuntu taliddiramu muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ekibi kyokya ng’omuliro; gumalawo emyeramannyo n’obusaana. Era gukoleeza eby’omu kibira, omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwonoona kw'abantu kwokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa, gukoleeza eby'omu kibira omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyonoono by'abantu, byokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa. Gukoleera ne gwokya ebibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka, ne birinnya waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obubi bwokya ng'omuliro; gumalawo emyeramannyo n'amaggwa: weewaawo, gukoleera mu bisaka eby'omu kibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu.