Isaiah 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku gwa ddyo bagajambula, sso basigala bayala; ku kkono bakavvula, sso ate tebakkuta; buli omu alya nnyama ya munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye ensi eggiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro, tewali muntu alekawo muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi egyiiridde ddala, era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro, tewali asonyiwa muganda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obusungu bwa Mukama Nnannyinimagye, ensi ekoledde omuliro, abantu ne baba ng'enku ze gwokya. Tewali n'omu asonyiwa muganda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi eyiiridde ddala: era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro; tewali asonyiwa muganda we.