Isaiah 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggwanga oliwadde okwala, oyongedde essanyu lyabwe; okwesiima kwabwe kweyongedde, basanyukira mu maaso go ng'abali mu ssanyu ly'amakungula, ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza, balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaabeeranga mu kizikiza, balabye ekitangaala ekingi. N'abaabeeranga mu nsi ekutte kazigizigi ng'ow'emagombe, ekitangaala kibaakidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekisiikirize ky'okufa, omusana gubaakidde bo.