Isaiah 9:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manasse alirya Efurayimu, ne Efurayimu alirya Manasse; ate bombi ne beefuukira Yuda. Olw'ebyo byonna obusungu bwe tebunnaggwa, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala; balirya n’eby’oku kkono, naye tebalikkuta. Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balimalawo eby'okulya eby'oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala, balirya n'eby'oku kkono, naye tebalikutta era balituuka buli muntu okulya munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli wantu mu nsi eyo, abantu balinyaga buli kamere ke basanga ne bakalya, era ne batakkuta. Balituuka n'okulya abaana baabwe bennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n'alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta: balirya buli muntu ennyama ey'onukono gwe ye: