Isaiah 9:21 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase ate bombi ne balya Yuda. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba Manase n'aba Efulayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba aba Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era ng'akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamanasse n'Abeefurayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba ab'omu Kika kya Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase Efulayimu; ne Efulayimu Manase: era bombi wamu balikyawa Yuda. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.