Isaiah 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ekikoligo ky'omugugu gwe, omuggo ogubabadde ku kibegabega, omuggo gw'abamubonyaabonya, abimenyeewo nga bwe gwali mu budde bw'Abamidiyani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng'abantu bwe basanyuka mu biseera eby'amakungula, ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyongedde ab'omu ggwanga okwala, n'obongera okusanyuka. Basanyukira mu maaso go nga bwe basanyuka nga bakungula, oba ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng'essanyu bwe liri ery'omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago.