Isaiah 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli kigatto ky'eyatabaala mu lutalo, na buli kyambalo ekyakulungibwa mu musaayi, bya kwokebwa ng'enku mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, n’ekiti eky’oku kibegabega kye, n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekikoligo ekyabazitoowereranga, n'omuggo ogwa bakubanga ku bibegabega byabwe, n'olugga lwabo ababajooganga, obimenyeemenye nga ku lunaku lwe wawangula Midiyaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ekikoligo ekyali kibazitoowerera, n'omuggo ogwabakubanga ku bibegabega, n'oluga lw'abo ababatulugunya, obimenyeemenye ng'edda bwe wamenyaamenya eggye ly'Abamidiyaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekikoligo ekyamuzitoowerera, n'omuggo ogw'oku kibegabega kye, lwe luga lw'omujoozi we, obimenye nga ku lunaku lwa Midiyaani.