Isaiah 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omwana atuzaaliddwa, omwana ow'obulenzi atuweereddwa; obufuzi bumuli ku kibegabega; erinnya lye, balimuyita: Omubuulirizi Eyeewuunyisa, Katonda ow'Obuyinza, Omuzadde Ataggwaawo, Omulangira Kiwamirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo na buli kyambalo ekibunye omusaayi, biriba bya kwokebwa, bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli ngatto ya musirikale ali mu lutalo, era n'ebyambalo ebikulukuunyiziddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigatto by'abaserikale abasaatuuka okulumba, era n'ebyambalo ebikulunguddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby'oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n'ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez'omuliro.