Isaiah 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okugaziwa kw'obwakabaka bwe n'eddembe lye tebiriiko makoma; aliramula ku nnamulondo ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza n'okubuwanirira mu bulungi ne mu butuukirivu, okuva ku olwo n'okutuusa emirembe gyonna. Okwagala kw'Omukama w'Amagye kwe kulikola kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa, anaabanga mufuzi waffe. Aliyitibwa Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ow'olubeerera, omulangira ow'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa anaabanga omufuzi waffe. Aliyitibwa wa kitalo, Muwi wa magezi Katonda ow'obuyinza, Kitaffe ow'olubeerera, Omulangira ow'Emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.