Isaiah 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aweerezza ekigambo ku Yakobo; kijja kugwa ku Yisirayeli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye bulikituukiriza ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, alinyweza obwa kabaka bwe, ku musingi ogw'amazima n'obwenkanya, okuva leero n'okutuusa emirembe n'emirembe. Mukama ow'eggye amaliridde okutuukiriza ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okweyongera kw'obufuzi bwe n'okw'emirembe gy'alireeta, tekulibaako kkomo. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, era ng'obuyinza bwe abwesigamya ku mazima na bwenkanya, okuva lw'alitandika okufuga n'okutuusa emirembe n'emirembe. Ekyo Mukama Nnannyinimagye alikituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n'okubuwanirira n'omusango n'obutuukirivu okuva leero n'emirembe n'emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.