Isaiah 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era abantu bonna banaakitegeera, Efurayimu n'abatuuze b'omu Samariya, mu kwekuza kwabwe abagamba n'omutima omwekuluntazi nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo, ku birituuka ku Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama bye yalabula bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bye yalabulamu bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Ggwanga lya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri.