James 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti enjuba evaayo n'ebbugumu lyayo n'ekaza omuddo; ekimuli kyakyo ne kigwa, n'obulungi bwakyo ne buggwaawo, n'omugagga bw'aliggweerera atyo mu by'aliko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula, era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba bw'eyaka n'ebbugumu lyayo eringi, ekaza omuddo, ekimuli kyagwo ne kigwa, n'obulungi bw'endabika yaakyo ne buggwaawo. N'omugagga bw'atyo bw'alikala, ng'ali mu ebyo bye yettanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga enjuba evaayo n'omusana omungi n'ewotosa omuddo; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obulungi bw'ekifaananyi kyagwo ne bubula: era n'omugagga bw'atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe.