James 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabanga aba akemeddwa agamba nti: “Katonda y'ankema,” kubanga Katonda takemwa bwonoonefu era ye taliiko gw'akema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema, kubanga Katonda takemebwa na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'akemebwanga, tagambanga nti: “Katonda ye ankema.” Katonda takemebwa kibi, era ye yennyini takema muntu n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'akemebwanga, tayogeranga nti Katonda ye ankema kubanga Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna: