James 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula omuntu akemebwa, bw'atwalirizibwa n'asendebwasendebwa okwegomba kwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula buli akemebwa, asikirizibwa era asendebwasendebwa kwegomba kwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe ye n'asendebwasendebwa.