James 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwegomba bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi; ekibi bwe kikula, ne kizaala olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona, n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto, ne kuzaala ekibi, ate ekibi ekyo bwe kimala okukula, ne kizaala okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa.