James 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kiweebwa ekirungi na buli kirabo ekituukiridde kiva waggulu, kiva wa Taata owa buli kitangaala, ataliiko kufuukafuuka, oba ekisiikirize ekiva mu kukyukakyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newakubadde ekisiikirize eky'okukyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukiridde, kiva mu ggulu, ne kikka okuva eri Katonda Kitaffe eyatonda ebyakira ku ggulu, atayinza kuba na kufuukafuuka, wadde okulimbalimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu kiva waggulu, nga kikka okuva eri Kitaffe ow'ebyaka, atayinza kuba na kufuukafuuka newankubadde ekisiikirize eky'okukyuka.