James 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muleke eri buli bugwagwa na buli bugwenyufu bwonna, mu bwetoowaze mwanirize ekigambo ekyabasigibwamu ekisobola okulokola emyoyo gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulekenga emize gyonna n'empisa embi. Mukkirize n'obuwombeefu ekigambo kya Katonda ekyasigibwa mu mmwe, ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.