James 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga singa oli akoma ku kuwulira kwokka n'atassa mu nkola, abeera ng'omusajja eyeeraba mu ndabirwamu amaaso ge nga bwe gaakula,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awulira obuwulizi ekigambo n'atakikolerako, afaanaanyirizibwa n'omuntu eyeeraba mu ndabirwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu yenna bw'aba omuwulizi w'ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyeeraba amaaso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: