James 1:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso eyeetegereza etteeka ettuufu, etteeka ery'eddembe, n'anywera, n'ataba awulira ate ne yeerabira, naye n'assa mu nkola n'atuukiriza, oyo alyeesiima mu by'akola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'aganyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka eyeetegereza amateeka amatuufu agatufuula ab'eddembe, n'aganywererako, atali awulira obuwulizi ne yeerabira, wabula omukozi atuukiriza bye galagira, oyo anaaweebwanga omukisa mu by'akola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag'eddembe n'anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.