James 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli alowooza nga musomi, sso nga tatangira lulimi lwe, oyo aguya mutima gwe; eddiini ye temuli nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe, eddiini y'oyo teriiko kyegasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyeerowooza nga wa ddiini, kyokka n'atafuga lulimi lwe, oyo yeerimba bwerimbi, eddiini ye teriiko ky'egasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe eddiini y’oyo teriiko ky'egasa.