James 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso ga Katonda era Taata eddiini ennongoofu, eteriiko bbala, y'eno: okulambula bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku zaabwe n'okwekuuma ensi eno ereme kutwonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddiini entuufu era eteriiko kamogo mu maaso ga Katonda Kitaffe, ye eno: okulabiriranga bamulekwa ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga ensi ereme kutwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutaba na mabala ag'omu nsi.