James 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omu mu mmwe amala abagamba nti: “Mugende mirembe, mubugume, mukkute,” awatali kubawa ebyo omubiri bye gwetaaga, kigasa ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye omu ku mmwe n’amugamba nti, “Genda mirembe, obugume, era olye bulungi”, naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era omu ku mmwe bw'abagamba nti, “Mugende n'emirembe mubugume, mukkute,” naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omu ku mmwe n'amugamba nti: “Genda mirembe, obugume era okkute,” kyokka nga tamuwadde bye yeetaaga, ekyo kigasa ki?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era omu ku mmwe bw'abagamba nti Mugende n'emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?