James 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa.” Kale ndaga okukkiriza kwo okutalina bikolwa, nange nkulage okwange nga nkola ebikolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu ayinza okugamba nti, “Ggwe olina okukkiriza nange nnina ebikolwa; ndaga okukkiriza kwo okutaliiko bikolwa, nange nkulage ebikolwa byange nga bwe bikakasa okukkiriza kwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu alyogera nti, “Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa.” Ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange nnaakulaga okukkiriza kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oli ayinza okugamba nti: “Ggwe olina okukkiriza, nze nnina ebikolwa ebirungi.” Ndaga omuntu bw'aba n'okukkiriza, nga talina bikolwa birungi, nange nkulage okukkiriza kwange, nga nsinziira ku bikolwa byange ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu alyogera nti Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa: ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange ndikulaga okukkiriza kwange.