James 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi. Naye n'amasitaani gakkiriza ne gakankana n'okukankana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukkiriza obukkiriza nti waliwo Katonda omu yekka, kirungi. Naye ne baddayimooni nabo bakkiriza n’okukankana ne bakankana!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi, era ne badayimooni bakkiriza, ne bakankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okkiriza nga Katonda ali omu? Kirungi. Naye n'emyoyo emibi gikikkiriza, era ne gikankana olw'okutya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi: era ne bassetaani bakkiriza, ne bakankana.