James 2:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaffe Yiburayimu teyayitibwa mutuukirivu bwe yatambira Yizaake omwana we ku mwaliiro?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Jjajjaffe Ibulayimu teyaweebwa obutuukirivu olw’ekikolwa kye yakola, bwe yawaayo omwana we lsaaka, afiire ku kyoto?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, bwe yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jjajjaffe Aburahamu, teyasiimibwa Katonda lwa bikolwa bye, bwe yawaayo omwana we Yisaaka ku kyoto okumwokya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?